Ekiro ekyo, eky'ettendo (LUGANDA)
TAKEN FROM: Enyimba Ez'okutendereza Kantonda Awamu n'amaloboozi Gaazo
(Luganda Hymn Book, with Tunes) Hymn 403 Page 428

Ekiro ekyo, eky'ettendo
Emmunteenye zaayaka
Omwana we yali azazakiddwa
Zakuuma Omwana omutukuvu
N'emirembe; Yebake mu mirembe.

Ekiro ekyo, ekitukuvu
Abasumba baalaba
Bamalayika abayimba
Okulaga omwana oyo
Kristo omulokozi - azaaliddwa leero.

Ekiro ekyo, eky'ettendo
Omwana omusuutwa
Ajjudde essanyu n'okwagala
Amanamasa ng'emmunyeenye,
Mutukuvu webake mu mirembe.
 

Submitted by: Jacob & Edith Matovu 


Return to Homepage
Return to homepage